About Me

I am a priest of the Archdiocese of Tororo, Uganda since my ordination on July 4, 1998. I am currently assigned as Professor of Theology and formator at Notre Dame Seminary in the Archdiocese of New Orleans, Louisiana.

Sunday, May 17, 2026

Homily Ascension: Mulibera bajulizi bange

 Homily for Ascension Year A 2026



Introduction

Leero nga tukuzza olunaku olw’amalinya kwa Mukama mu ggulu, twesanga mu kiseera kiri eky’omuwendo ekiri wakati — wakati w’essanyu ly’Okuzuukira kwa Yezu ne Pentekooti egenda okujja. Yezu yazuukira okuva mu bafu, era kaakano addayo eri Kitaawe. Naye nga tannagenda, akuŋŋaanya abayigirizwa be omulundi ogusembayo era n’abakwasa omulimu gwe.

Ebiseera ebimu Olw’amalinya lwa Mukama mu ggulu lw’elunaku abantu gye batera okwerabira. Buli muntu amanyi Pasika: Yezu yazuukira okuva mu bafu. Buli muntu amanyi Pentekooti: Omwoyo Omutukuvu yakkira ku batume. Naye Olw’amalinya lwa Mukama kuba wakati awo mu kasirise, abantu ne beebuuza nti: ddala tukuzza ki leero? Tukuzza Yezu okutuleka?

Nedda. Olw’amalinya lwa Mukama si kulaga nti Yezu yaleka Eklezia ye. Kulaga nti Yezu yakwasa Eklezia omulimu gwe. Kwe kutandika kw’omulembe omuggya — omulembe gwa Eklezia.

Scripture and Theology

Mu Vangiri ya leero Yezu atuwa ekyo kye tuyita “Okutuma okunene”, nga agamba nti:

Kale nno mugende muyigirize amawanga gonna, nga mubabatiza mu linnya lya Patri, n’erya Mwana, n’erya Mwoyo Mutukirivu.  Mubayigirizanga okukwata byonna bye nnabalagira. Nange, ndi nammwe ennaku zonna okutuusa ensi okuggwaawo.

Ago ge gamu ku bigambo bya Yezu ebyasembayo nga tannambuka mu ggulu eri Kitaawe. Si bigambo bya bulijjo. Gwe mulimu gwe yasembayo okutukwasa era n’ekisuubizo kye ekyasembayo. Kale ka twekenneenye ekiragiro kino tulabe obubaka Yezu bw’atuleetera. Tumuwulira ng’ayogera ku bintu bisatu: okugenda, okubatiza, n’okuyigiriza.

Ekisooka, okugenda. Obukristu si kintu kye tukweka mu kizimbe ky’eklezia kyokka. Eklezia mu butonde bwayo ya butume. Abatume tebaalina kusigala ku lusozi nga batunudde mu ggulu Yezu bwe yamala okwambuka. Baalina kugenda mu nsi.

Ebiseera ebimu Katonda ayita abantu okuva ewabwe okugenda ewala ng’abaminsani. Okukkiriza bwajja mu Uganda kubanga abaminsani baava mu mawanga gaabwe ne baleeta Evangiri wano, okutandikira ku Brother Amans ne Faaza Lourdel, gwe tuyita Mapeera.

Naye bangi ku ffe tuyitibwa okuwa obujulirwa okumpi n’awaka — mu maka gaffe, mu byalo byaffe, mu masomero, mu mirimu gyaffe, mu butale, ne mu bitundu gye tubeera. Eyo gye tulina okugenda, naddala oluvannyuma lwa Mmisa omusaseseredoti bw’agamba nti: “Mugende mu mirembe” oba “Mugende mutendereze Mukama n’obulamu bwammwe.”

Era mwetegereze ne Yezu ky’abagamba okukola.  Teyagamba busa nti: “Mweyongere abantu” oba “mufune bamemba bangi.” Yabagamba okufula abantu abayigirizwa. Omuyigirizwa ye muntu agoberera Yezu, ayiga okuva gy’ali, era mpola mpola n’afuuka nga ye. Omulimu gwa Eklezia si kujjuza eklezia kyokka, wabula okuyamba abantu okubeera ddala mu Vangiri n’okuyingira mu nkolagana ey’obuntu ne Yezu Kristo, nga baganda baffe abalokole bwe batera okwogera.

Ekiddako, okubatiza. Ng’abaminsani, abayigirizwa balina okubatiza. Kubanga okuyita mu kubatizibwa abantu bafuuka abayigirizwa; bayingizibwa mu bulamu bwa Katonda — Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Okubatiza si mukolo gwa nnono gwokka oba embaga y’amaka. Kwe kuzaalibwa obuggya mu bulamu bwa Kristo n’okufuuka ekitundu ku Eklezia ye. Okuva mu kubatizibwa muvaamu sakramentu endala nnyingi n’eneema za Katonda eziyamba omuyigirizwa okutuuka mu ggulu.

Era eky’okusatu Yezu kye yasaba, okuyigiriza. Yezu agamba nti: “Mubayigirize okukwata byonna bye nabalagira.” Kino tebakikola na bigambo byokka, wabula n’obujulirwa bw’obulamu bwabwe. Kubanga abantu bangi bayiga obukkiriza si mu bitabo bya katekisimu n’omugigi by’okka, wabula nga balaba Abakristu abalina obulamu obw’enjawulo, obulamu obufaanana obwa Yezu Kristo.

Ekyo kituleeta ku somo elivude mu Bikolwa by’Abatume. Abayigirizwa baali tebannategeera bulungi. Yezu bwe yabakuŋŋaanya olw’Okwambuka kwe mu ggulu, baamubuuza nti: “Ssebo, kazzi mu bbanga eryo mw;oliddizaawo obwakabaka bwa Isiraeli?”

Mu ngeri endala, baali bakyatekereza ku buyinza, obuwanguzi, n’ekitiibwa eky’olubiri. Oboolyawo baalowooza nti kaakano bagenda kufuna ebifo eby’ekitiibwa n’obukulu oluvannyuma lw’okwewaayo kwabwe kwonna, nga abantu bwe basanyuka bwe batuuka ku bifo by’obuyinza n’ekitiibwa, nga ba MP baffe bye twalabye wiiki ewedde.  Naye Yezu akyusa ebirowoozo byabwe okuva ku kitiibwa n’obuyinza n’abitunuza ku mulimu. Abagamba nti: “Mujja kuba bajulirwa bange.”

Omujulirwa ye muntu alabye ekintu era n’atayinza kusirika. Mu bitundu byaffe bwe wabaawo akabenje ku kkubo oba empaka mu katale, abantu batandika okubuuza nti: “Ani alabye ebyabaddewo?” Omujulirwa aba mukulu kubanga ayogera ku by’alabye.

Abatume baali bajulirwa kubanga baali babeera ne Yezu. Baamuwulira ng’ayigiriza. Baamulaba ng’awonya abalwadde, asonyiwa abalina ebibi, era ng’azuukiza abafu. Baalaba okubonaabona kwe n’okukomererwa kwe ku musaalaba. Era bwe baasanga Mukama eyazuukira, tebaasobola kuddamu kubeera kye kimu.

Kaakano Yezu abatuma; si ng’abantu ab’amannyi oba abakulembeze, wabula ng’abajulirwa, okugabana ebyo bye baalaba ne bye baawulira.

Baganda bange, Okwambuka kwa Mukama si lunaku lwa “graduation” eri abatume. Lunaku lwa kutumwa. Mu butuufu Yezu yali abagamba nti: “Natandika omulimu. Kaakano mmwe mugende mu maaso.”

Kifaanana ng’empaka z’emisinde ku lunaku lw’emizannyo ku ssomero. Omuddusi omu amaliriza ekitundu kye n’akwasa omulala omuggo. Kristo yamaliriza omulimu gwe ku nsi, era kaakano akwasa Eklezia omuggo ogwo. Era mwetegereze: tagukwasa bagagga bokka, oba abayivu bokka, oba abantu ab’amaanyi bokka. Agukwasa buli mukkiriza eyeeteeseteese okubeera omwesigwa.

Naye Yezu tatukwasa muggo n’alyoka atuvaako. Ateekateeka Eklezia mu ngeri ssatu enkulu.

Ekisooka, ayigiriza. Emyaka esatu abatume baabeera naye. Bayiga si mu bigambo bye byokka, wabula ne mu ngeri gye yasabangaamu, okwetowaza kwe, okusaasira kwe, n’okwewaayo kwe.

Ekiddako, asuubiza Omwoyo Omutukuvu. Eklezia tetambuza mulimu gwayo ku maanyi ga bantu gokka. Singa twesigama ku maanyi gaffe, tukoowa, ne tugwaamu essuubi, ne twawukana. Naye Omwoyo Omutukirivu atuwa obuvumu, amagezi, n’okugumira.

Era eky’okusatu — kino kikulu nnyo — Yezu asigala naffe. Ebigambo ebyasembayo mu Vangiri ya leero bigamba nti: “Nange, ndi nammwe ennaku zonna okutuusa ensi okuggwaawo.” Ekisuubizo ekyo kikyusa buli kimu. Kubanga singa omulimu guno gwali gwa kwesigama ku maanyi gaffe gokka, Eklezia yandibadde dda nga eggwaawo. Naye Kristo agenda mu maaso okulungamya, okunyweza, n’okuwanirira abantu be.

Bwe twatula mu Kkiriza nti Yezu “atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Kitaffe,” oluusi tulowooza nti abeera eyo wala ng’awummudde. Naye Kristo eyambuse mu ggulu si mutakola. Ne kaakano agenda mu maaso n’omulimu gwe ng’omusaseredoti waffe Omukulu. Atwegayirira eri Kitaffe. Agenda mu maaso okutwegatta ku kitambiro kye.

Christian Life

Aboluganda, abantu bangi balowooza nti okuwa obujulirwa kitegeeza okukola ebintu eby’amaanyi ennyo oba okufuuka abatukirivu abamanyiddwa ensi yonna. Naye emirundi mingi obujulirwa bwa Kikristu buba mu bintu ebyabulijjo.

      Maama agolokoka enkya nnyo okutegeka abaana okugenda ku ssomero ate n’afuna obudde okusaba — obwo bujulirwa.

      Taata agaana enguzi ne bwe wabaawo obuzibu bw’ensimbi — obwo bujulirwa.

      Omusomesa w’eddini ayigiriza buli Ssande n’obwesigwa wadde nga taliiko amutendereza — obwo bujulirwa.

      Omusawo alabirira abalwadde n’obugumiikiriza n’okusaasira — obwo bujulirwa.

      Omuyizi agaana okubba mu bigezo — obwo bujulirwa.

      Jjajja asabira buli lunaku abaana n’abazzukulu be — obwo bujulirwa.

Ebintu ebyo biyinza okulabika nga bitono mu maaso g’ensi, naye bibuulira Evanjiri mu maanyi mangi nnyo.

Abatume baakwata omulimu gwabwe nga gwa muwendo nnyo. Baabuulira Evanjiri si mu Yerusaalemi, Buyudaaya ne Samaliya byokka, wabula okutuuka ku nkomerero y’ensi. Kyetuva tumanya Yesu ne wano mu Mbale leero. Okukkiriza kwatuuka mu Afrika kubanga emirembe gy’Abakristu egyaddirira gyakkiriza okutwala omuggo gw’obukkiriza ne gubugabira abalala n’obwesigwa.

Conclusion

Kaakano omuggo gw’okukkiriza gutuuse gye tuli. Kale ekibuuzo kya leero kyangu nnyo: Tugenda kukola ki n’omuggo ogwo?

Leero Yesu addamu okutugamba nti: “mugende muyigirize amawanga gonna, nga mubabatiza, … era mujjukire nti ndi nammwe ennaku zonna.”

Tusabe Mukama atuwe obuvumu n’obwetowaze okukkiriza omulimu ogwo. Era nga tunywezeddwa n’Okwebaza kuno okutukuvu, tugende mu maka gaffe, mu bitundu byaffe, ne mu nsi yonna nga tuli bajulirwa beesigwa ba Kristo.

No comments:

Post a Comment