Homily for 4th Sunday of Advent Year A 2025-26
Introduction
Mu Luganda,
waliwo ekigambo, mujananyina. Kitegeeza omwana ajja ne maama nga
ayingidde obufumbo.
Omwana oyo mu
buzaale si w‘aMusajja nannyini maka. Buli muntu ku kyalo akimanyi. Abantu,
naddala ab’eŋŋanda bayinza ok’owegeera.
Naye era tumanyi
ekintu ekirala. Waliwo abasajja abalungi—abasajja ab’amaanyi — abaaniriza
omwana oyo nomutima gwonna. Bagamba nti, “Omwana ono aze n’omukazi gwe
njagala.”
Okuva ku lunaku
olwo, omwana oyo takyali “wuwe yekka.”
• Omusajja oyo ayaniriza omwana na’muliisa okuva mu ntuuyo ze.
• Akangavvula omwana oyo, era namukuuma.
Omusajja ng’oyo
aweebwa ekitiibwa, kubanga alondawo okwagala okusinga amalala, Obuvunaanyizibwa
okusinga obuteefirayo.
Evanjiri ya
leero ekwata ku musajja ng’oyo.
Scripture and Theology
Tuwulide mu
vanjiri, nti “Maria Nnyina ng’amaze okwogerezebwa Yozefu, nga tebannaba
kubeera wamu, n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.” Omwana ono
si wa Yozefu mu buzaale. Mu ngeri y’abantu, omwana Maria gwe yalina mulubuto
yandibadde mujananyina.
Ekyo
kituyamba okutegeera ensonga lwaki era tuwulide nti: “Naye Yozefu bbawe,
kubaganga yali mutuufu, n’atayagala kumuwawaabira; n’ateesa mu mwoyo gwe
okumulekayo mu kyama.” Mu kusooka,
Yozefu talaba ngeri ye kennyini gy’ayinza okutwala obuvunaanyizibwa ku mwana
atali wuwe; mpozzi ayagala Maria afumbirwe omusajja eyamufunyisa olubuto. Naye
ne mu kiseera ekyo, asalawo okweyisa mu ngeri ey’ekitiibwa. Taswaaza Maria. Amusaasira.
Naye ate
Mukama n’ayingirawo. Amuweereza malayika ng’alina obubaka obw’enjawulo: “Yozefu,
owamna wa Daudi, leka, totya kuyingiza mumwo Maria mukazi wo, kuba ekitondedwa
mu ye kya Mwoyo Mutuukirivu.” Malayika akiriza nti omwana si wa Yozefu mu
butonde, naye alaga ekintu ekitegeerekeka obulungi ennyo: Katonda yeenyigidde
mu nsonga eno.
Era
malayika agenda mu maaso n’agamba nti: “Ajja kuzaala omwana wa bulenzi, ggwe
n’omuyita lya Yezu; kuba ye wuuyo alirokola abantu be mu bibi byabwe.” Anti, erinnya Yezu oba Yeshua litegeeza
“Katonda alokola.”
Yozefu olwo
n’akkiriza obuvunaanyizibwa buno obunene obw’okukuza omwana atali wuwe, ku lwa
Katonda. Tulina okujjukira nti wadde nga Yezu yali Katonda ddala, era yali
muntu ddala, ekitegeeza nti yalina okuyiga ebintu ng’omwana yenna.
• Yozefu yamuyigiriza okutambula n’okwogera
• Yozefu yamuyigiriza engeri y’okusaba n’okumanya etteeka lya Katonda
• Yozefu yamuyigiriza engeri y’okukola n’emikono gye ng’omubazzi
Mu bufunze, Yozefu
yayigiriza Omwana wa Katonda engeri y’okubeera omusajja, omusajja Omuyudaaya.
Naye Yozefu si ye
muntu eyasooka mu Baibuli Katonda gwe yayita n’amuwa obuvunaanyizibwa
obw’amaanyi.
· Ibulayimu ow’emyaka nsanvu mu etaano yali mu kukola mirimu gye mu kitundu kati ekiyitibwa Iraq, ng’alabirira endiga n’embuzi, n’okulima ettaka! Era awo Katonda n’ajja n’agamba nti: “Owange, leka ensi yo, n’ab’eŋŋanda zo, ne mu nnyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga, nsuubiza okukuwa omukisa n’okukufuula eggwanga eddene.”
· Ate waliwo Musa Katonda gw’eyayita okununula abantu be okuva e Misiri, naye okukikola ng’alina okuwangula Falaawo!
· Era waaliwo abalanzi, Katonda b’ayita okwogera amazima eri obuyinza n’eggwanga lyonna, nga batuusa obubaka abantu bwe batayagala kuwulira. Ng’ekyokulabirako, mu ssomo ly’olwaleero, Kabaka Akazi tayagala kuwulira obulamzi bwa Isaaya obugamba nti omununuzi ajja kuzaalibwa mbeerera.
Era bwe kityo,
ng’Omuyudaaya omwesigwa, Yozefu ateekwa okuba nga yali amanyi engeri Katonda
gy’akolamu ebintu bye. Era y’ensonga lwaki, ne bw’aba nga tayagala katono,
akwata omulimu ogusomooza Katonda gw’amuwa, n’atwala Maria ow’olubuto nga
mukyala we n’omwana mu maka ge.
Era tukimanyi nti
Yozefu yakola omulimu guno nga taata n’obwesigwa, ng’akkiriza ebizibu ebya
bulijjo eby’omwana eyaakazaalibwa nebirala eby’enjawulo.
• Yalina okutambula ne Maria okuva e Nazaaleeti okutuuka e Beetelemu. Olugendo olwo lwa mayiro nga 100, nga okuva e Mbale okutuuka e Lugazi. Ate era, Maria yali mu wiiki ezisembayo ng’ali lubuto!
• Era oluvannyuma lw’okuyita mu kizibu ky’okutambula, batuuka e Beetelemu era wooteeri n’amalwaliro bijjudde! Nzijukira muto wange bwe yazaalibwa! Maama ne taata baatambula okutuuka mu ddwaaliro, ekirungi mayiro bbiri, so si mayiro 100, naye nga tewali musawo yenna abalabirira. Bwe batyo ne baddayo eka era muliraanwa n’ayambako maama okuzaala mu nnyumba yaffe. Yozefu ne Maria tebassobola nadde kuzala mu maka gaabwe. Baali balina okuzaalira mu kiralo!
• Oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwa Yezu, ebizibu byabwe tebyakoma. Kati, nga balina omwana eyaakazaalibwa, baalina okudduka okugenda e Misiri, mu kifo ky’okudda e Nazaaleeti. Lowooza ku’babundabunda abangi mu nsi, leero, abamu ne batuuka n’okujja mu Uganda. Ogwo gwe gwali omulanga gwa Yozefu!
Christian Life
Aboluganda,
Katonda talekedde awo kuyita bantu lwa mirimu gye, era talekedde awo kusaba
bingi mu abo b’ayita. Nga bwe yayita Yozefu ne Maria olw’omulimu gwabwe
ogw’enjawulo ogw’okuleeta Omulokozi mu nsi muno, Katonda naye atuyita naffe! Tulowooze
ku kuyitibwa nebisomooza ebiri mu kuyitibwa okwo mu busaserdooti ne mu bufumbo
obutukuvu.
Omulanga eri
obufumbo obutukuvu kuyitibwa okuva eri Katonda nga buli omu yeewaayo obulamu
bwonna eri mmune, n’omulimu gw’okukuza abaana mu kukkiriza. Abafumbo mazima
ddala mujja kukkiriza nti kino si kyangu bulijjo!
• Oyinza kola ki ng’okusikiriza okwasooka mu bufumbo kukendede? Oyinza kola ki ng’omwami wo oba mukyala wo aludde ng’alwadde ennyo? Nga Katonda bwe yasaba bingi ku Yozefu ne Maria, Katonda abasaba obwesigwa obw'enkomeredde n'okwewaayo, okutuusa okufa.
• Era awo waliwo okwewaayo eri abaana. Nga bwe yakola ku Yozefu ne Maria, Katonda atadde obuvunaanyizibwa bungi mu ngalo zo nga maama ne taata, okukuza omwana oba babiri oba basatu, mwenda si mu kuliisa kwoka, okwambaza n’okutwalira awamu okubakuuma nga balamu bulungi, wabula n’okubakuza okumanya n’okwagala Katonda n’abaantu. Omulimu guno ogw’okukuza abaana, ogw’okuyigiriza amakubo ga Katonda tegubangako mwangu, wabula gusomooma nno leero kuba ensi ebayigiriza birala.
Kyoka mugenda mu
maaso ng’abafumbo era ng’abazadde, nga mukimanyi nti kino kuyitibwa okuva eri
Katonda, bulijjo asaba bingi okuva eri abo b’ayita.
Oluusi abantu balowooza nti ebintu bisingako ku ludda olulala! Abafumbo bayinza okulowooza nti obulamu bwa babasaseredooti, abasista oba babraza, abatali bafumbo, buteekwa okuba obwangu! Mbakakasa nti ssibweekiri.
• Katonda bw’aba ayita abafumbo okubeera bamaama era bataata b’abaana babiri oba basatu oba bana, mwenda, ayita Faaza okuba kitawe wa bonna, n’abo abatamwagala.
• Katonda bw’ayita abafumbo okuyigiriza abaana baabwe, ayita Faaza okubuulira bonna, ng’ayogera nabo kinnoomu era ng’akola ku bibaluma kinnoomu, parish yoona.
• Katonda bwayita abantu abafumbo okubeera abeesigwa eri banaabwe, ayita Faaza okubeera omwesigwa eri omugole we, Ekelezia yonna.
Conclusion
Mu nnaku ntono, tujja kukuza Ssekukkulu kubanga Yozefu yakkiriza omwana. Teyategeera bulungi. Yatya. Naye yeesiga Katonda. Okufaananako omusajja akkiriza mujananyina, Yozefu yalonda okwagala, obuvunaanyizibwa, n’okukkiriza.
Okudda kufe, Katonda ayita buli omu ku ffe — mu maka gaffe, mu byalo byaffe, mu Kelezia yaffe.
Ekyebuuzibwa si kuba nti omulimu guno mwangu; ekyebuuzibwa kiri nti: Tuli beetegefu, okufaananako Yozefu, okukkiriza n’okuwaayo buli kimu Katonda ky’asaba?
No comments:
Post a Comment