About Me

I am a priest of the Archdiocese of Tororo, Uganda since my ordination on July 4, 1998. I am currently assigned as Professor of Theology and formator at Notre Dame Seminary in the Archdiocese of New Orleans, Louisiana.

Sunday, December 14, 2025

Homily Advent 3A (Luganda): Gwe tubadde tulindirira wuuyo.

 Homily for 3rd Sunday of Advent Year A 2025-26


Introduction

Yoanna Batista abuuza ekibuuzo ekinyuvu mu vanjiri ya leero: “Ggwe wuuyo ow’okujja, nandiki tulindirireyo omulala?”

Ffe abakristu, ekibuuzo kya Yoanna kiyinza okuwulikika ng’ekiteetaagisa. Tuyinza okulowooza: “Naye buli omu akimanyi nti Yesu ye Kristu, omununuzi!” Kale lwaki Yoanna abuuza ekibuuzo kino?

Tuleme kwanguyira nnyo okunenya Yoanna. Mu kifo ky’ekyo, ka twebuuze: Twanditegedde Yesu singa ajja mu ffe leero? Oba naffe, okufaananako Yoanna, twanditunuulidde omuntu afaanana Kristo ne tubuuza nti: “Ggwe wuuyo ow’okujja, nandiki tulindirireyo omulala?”

Era bwekityo obubaka bwe njagala tulowozeko leero bwe buno: Tutegeera tutya Kristo bw’ajja mu bulamu bwaffe?

Scripture and Theology

Wadde nga Yoanna ne Yesu baali ba kojja era nga kirabika baakula nga bamanyiganye, Yoanna akyasaba okukakasibwa. Yali alangiridde Kristu ow’amaanyi — oyo agenda okwawula eŋŋaano ku bisusunku, eyandibatiza n’omuliro. Naye Yesu y’alabika mu buwombeefu, mu kusaasira, mu kuwonya, n’okubuulira. Yoanna, kati atudde mu kkomera, ayagala kukakasa ddala nti yeyye?

N’olwekyo, ekibuuzo kye si kibuuzo kya kubuusabuusa wabula kya kutegeera —okwagala okutukuvu okutegeera obulungi Yesu. Kye kibuuzo buli mukkiriza ky’alina okwebuuza enfunda n’enfunda: “Mukama, oli ludda wa mu bulamu bwange, nsobola ntya okutegeera okubeerawo kwo?”

Eky’okuddamu kya Yesu eri Yoanna era nakyo kiyinza okutwewuunyisa. Teyawa nnyonyola mpanvu. Yagamba bugambo nti: “Muddeyo, mubulire Yoanna by’emuwulidde: bamuzibe balaba, abalema batambula, abagenge bawona, abaggavu b’amatu bawulira, abafu bazuukira, n’aaavu babuulirwa evanjili.”

Mubigambo bino, Yesu agamba Yoanna nti: Mulitegeera Kristu si mu bigambo byoka wabula mu bikolwa ebituukiriza ebisuubizo bya Katonda.

Okusobola okutegeera ebisuubizo ebyo, tuddayo mu ssomo elisose. Yisaaya omulanzi yayogera ne Isiraeri mu buwaŋŋanguse bwabwe — abantu abaali balindirira, nga beegomba, nga babuuza ekibuuzo kye kimu Yoanna kye yabuuza: “Katonda alijja ddi okutulokola?”

Yisaaya yawa ebyokulabirako bibiri eby’amaanyi:

1. Katonda ajja kukyusa ensi. Eddungu lijja kufuumuuka. Ettaka ekkalu lijja kufuuka eggimu. Eddungu lirifuuka ng’ensuku z’e Lebanooni ne Kalumeeri. Yisaaya asuubiza ekintu ng’olusuku Adeni olwa Adamu ne Eva oluzzeemu — akabonero akalaga nti Katonda yennyini abasemberera.

2. Katonda ajja kuwonya abantu be. Abanafu bajja kunywezebwa. “Amaaso g’abazibe gajja kuzibuka... amatu g’abatawulira gajja kulongoosebwa... abalema bajja kubuuka ng’empologoma... abasiru bajja kuyimba.” Okuwona, okuzzibwawo, n’essanyu — bino bye bijja okuba obubonero bwa Kristu.

N’olwekyo Yoanna bw’asindika abayigirizwa be eri Yesu, Yesu addamu ng’asonga ddala ku bulanzi bwa Yisaaya. Laba ebigenda mu maaso. Obubonero obulaga Obwakabaka Katonda bwe yasuubiza bulabika. Era Yoanna yategeera. Teyaweereza bibuuzo birala eri Yezu.

Naye Yesu era akyukira abantu n’ababuuza ekibuuzo ekirala: “Mwagenda kulaba ki mu ddungu?” Olumuli empewo lw’eyuuza?  Omuntu ayambadde ebitonya? Omuntu abeera mu lubiri?

Nedda — baasanga omulanzi ng’ayambadde amaliba g’engamiya. Era naye Yesu alangirira nti: “Mu baali bazaalidwa abakazi simusibukangamu akira Yoanna Batista.”

Lwaaki? Kubanga Yoanna yategeera Kristu bwe yajja — era n’ateekateeka n’abalala okukola kye kimu.

Christian Life

Kale ab’oluganda, naffe tulina okuyiga okutegeera si Yesu yekka, naye n’abo b’atuma okuteekateeka emitima gyaffe.

Ani Katonda ayinza okuba ng’akusindikira nga “Yoanna Batista” wo? Yandiba:

       Omusomesa w’edinni ng’asomesa n’obwesigwa buli Ssande mu Kelezia y’oku kyalo

       maama oba taata asaba n’abaana ekiro, ng’abayigiriza esaala

       omuvubuka alondawo obwesimbu mu kifo ky’obuli bw’enguzi

       muliraanwa ng’alabirira ow’oluganda omukadde

       omusaseredooti oba munnaddiini ayogera amazima ne bwe gaba nga tegakirizibwa

       Omukristu ayamba amaka mu nnaku oba mu bulwadde.

Gano ge maloboozi agaleekaana mu ddungu lyaffe: “Mutegeke ekkubo lya Mukama, Mulongoose amakubo ge!”

Naye okusinga byonna, tulina okuyiga okutegeera Yesu yennyini mu bikolwa ebigenda mu maaso ebitwetoolodde. Ffe, okufaananako Yoanna, bwe tubuuza Yesu nti: “Ggwe wuuyo ow’okujja, nandiki tulindirireyo omulala?” Atuwa eky’okuddamu kye kimu: “Mulabbe by’enkola.”

Kiki kye tuwulira era kye tulaba Yezu by’akola? Obwakabaka buyinza obutaba bujjuvu, nga tulinda olunaku olusembayo — naye bwatuuse dda wano.

Wano e Mbale, tulaba Obwakabaka nga bwajja dda mubikolwa by’Abakatoliki aba bulijjo.

       Tukiraba mu abo abawanirira abaavu mu kasirise n’emmere, engoye, n’ebikolwa ebitonotono eby’okusaasira;

       mu bavubuka abalonda ebibinja by’okusaba, kkwaaya, n’abatume mu kifo ky’amakubo agazikiriza;

       ne mu Bakristu abasonyiwa obuvune obw’amaanyi ne balondawo okutabagana okusinga okwesasuza.

Ebikolwa bino biraga Kristo ng’akola mu bantu be.

Era Obwakabaka tubulaba mu ebyo Eklezia okutwaliza awamu by’ekola wano mu saaza lyaffe.

       Ekelezia eyigiriza abavubuka ng’eyita mu masomero, katekisimu, ne pulogulaamu z’abavubuka;

       Elabirira abantu abataliiko mwasirizi ng’eyita mu malwaliro amakatuliki, Babies’ Home yaffe e Gangama, n’amaka gaffe ag’abalema mu mubiri e Butiru ne Budaka.

       Ekisinga obukulu, ng’eyita mu basaseredoti, abasomesa ne basista, elangirira enjiri y’obulokozi n’okukuza amasakramentu agatuwa eneema y’olugendo lwaffe nga twolekera eggulu.

Mu ngeri zino zzonna, Ekelezia eraga nti ddala Kristo ali wakati mu ffe — era etuyita okumutegeera.

Conclusion

Ab’oluganda, leero Gaudete Sunday — Ssande y’Essanyu. Ekelezia eyimirira wakati mu budde obw’Amatuuka okutujjukiza nti Kristo yasemberera dda, yaliwo dda, yakola dda mu bulamu bwaffe.

Ssande eno eya Gaudete eddemu mu ffe essanyu ery’okutegeera Kristo eyabeera edda mu ffe, olwo bw’akomawo nate mu kitiibwa, tumusembeze ng’oyo gwe tubadde tulindirira bulijjo.

No comments:

Post a Comment