About Me

I am a priest of the Archdiocese of Tororo, Uganda since my ordination on July 4, 1998. I am currently assigned as Professor of Theology and formator at Notre Dame Seminary in the Archdiocese of New Orleans, Louisiana.

Monday, April 13, 2026

Homily Easter Sunday (Luganda): Kristo azuukidde! . . . Azuukiridde ddala!

 Homily for 1st Sunday of Easter 2026


Introduction

Ab’oluganda abagalwa, mbalamusa ku lunaku luno olw’ekitiibwa—Paska ennungi! Luno lwe lunaku olusinga obukulu mu kukkiriza kwaffe, kubanga tujaguza obuwanguzi bwa Yezu ku kufa.

Waliwo okulamusagana okulungi okuva edda mu ddinni lyaffe. Omuntu omu agamba nti: “Kristo azuukidde!” Omulala n’addamu nti: “Azuukiridde ddala!”

Kale tukikole wamu: “Kristo azuukidde! . . . Azuukiridde ddala!”

Ate nate: “Kristo azuukidde! . . . Azuukiridde ddala!”

Naye ab’oluganda, lwaki tugamba nti ““Kristo azuukidde! Azuukiridde ddala!”? Kitegeeza ki ddala?  Ka njogereko ku bintu bisatu ebiva mu Vangiri y’olwaleero.

Scripture and Tradition

Ekisoka.  Mu Vangiri tuwulidde nti Maria Magdaleena yagenda ku ntaana mu matulutulu. Waali wakyali nzikiza. Yali munakuwavu, omutima gwe nga gujjudde obulumi. Yali alowooza nti byonna biwedde.

Ab’oluganda abagalwa, naffe tumanyi ebiseera eby’enzikiza.  Ebiseera bwe biba ebizibu—ng’obulwadde buli mu maka, nga tewali ssente za kusomesa baana, ng’enjala eriwo, oba nga tufiiriddwa abaffe—obulamu bufuuka nga obudde obwo obw’enkya, obw’ekizikiza era obutali na ssuubi.

Naye kiki ekyabaawo ku lunaku olwo? Maria Magdalena yasanga ejjinja liggyiddwawo. Enntaana yali njereere. Yezu yali taliyo. Mpola mpola amazima ne gayingira mu mutima gwe: Yezu yali mulamu.  Buno bwe bubaka bwa Paska: Mukuzukira kwa Yezu, Katonda afudde enzikiza nefuuka omusana.

Kyetuva twatula nti: “Kristo azuukidde! . . . Azuukiridde ddala!”

Kati tugende ku bubaka obw’okubiri. Tuwulidde nti bino byonna byaliwo ku lunaku olusooka mu wiiki—Ssande. Kino kikulu nnyo.

Mu Baibuli, Ssande, olunaku olusooka, lwe lunaku Katonda lwe yatandika okutonda ensi. Kale Yezu bw’azuukira ku Ssande, kitegeeza nti Katonda atandise obutonde obupya.

Naye Abakristu bayita Ssande n’erinnya eddala: “olunaku olw’omunaana.” Lwaki? Kubanga lusukka ku nnaku musanvu ez’ennono. Lulaga obulamu obuggya, obutaggwaawo, obw’emirembe gyonna.

Kale ab’oluganda, tetukwatira ssabbiiti ku Lwomukaaga nga Abayudaaya. Ffe tukwatira ku Ssande.  Lwaki?  Kubanga Ssande lwe lunaku Yezu lwe yazuukira. Buli Ssande Paska ntono.

Kale tugenda ku misa buli Ssande, si lwa kiragiro kyokka, wabula kubanga tujaguza okuzuukira kwa Yezu buli wiiki. Bw’osubwa misa ya Ssande nga tolina nsonga nnene, oba osubidwa Paska. Ssande lwe lunaku olw’obulamu obuggya, olw’obuwanguzi, olw’essuubi.

Mu nnimi zaffe, emirundi mingi tubala ennaku okutandika ku Monday, ng’olunaku olusoka, nekuddako olw’okubiri, no olw’okusaatu. Naye eri Abakristu, Ssande lwe lunaku olusooka mu wiiki—olunaku obulamu bwaffe lwe bwakyuka ennaku zonna, olunaku Yezu lwe yazuukira.

Kyetuva twatula nti: “Kristo azuukidde! . . . Azuukiridde ddala!”

Kati tugende ku bubaka obw’okusatu. Kitegeeza ki nti Yezu yazuukira? Kiki ekyamutuukako?

Abamu balowooza nti Yezu yaddayo mu bulamu bwe bweyalina nga tanafa. Naye si kituufu. Mujjukira Lazaro—Yezu yamuzuukiza, naye oluvannyuma n’afa nate.  Naye Yezu ye yakyukira ddala. Yezu yazuukira mu bulamu obupya.

Lowooza ku kasigo kebijanjalo akasimbiddwa mu ttaka. Bwe kasimbibwa, kasobola okulabika nga kafudde. Naye oluvannyuma kafuuka ekimera ekipya.

Ekyo kyekyatuuka ku Yezu.  Yafa, naye bwe yazuukira, teyali kye kimu. Yalina omubiri ogw’ekitiibwa. Tagenda kufa nate. Ali mulamu emirembe gyonna.  Eyo ye nsonga lwaki enntaana yali njereere.

Ffe Abakatuliki twagala nnyo ebisigala by’abantu abatukuvu. Naye waliwo ekintu kimu kye tutalina—era kye tutayagala—omubiri oba amagumba ga Yezu.

Lwaki? Kubanga ali mulamu!

Kyetuva twatula nti: “Kristo azuukidde! . . . Azuukiridde ddala!”

Christian Life

Kati ab’oluganda, bino tebikwata ku Yezu yekka. Bikwata ne ku ffe. Ekyatuuka ku Yezu kijja kutuuka ne ku ffe.  Olunaku lumu tujja kufa—naye si nkomerero. Naffe tujja kuzuukira.  Eyo ye ssuubi lyaffe.

Kale bwe tuziika abaffe, tetukaaba nga abantu abatalina ssuubi. Tukaaba, yee, naye tukimanyi nti olunaku lumu tujja kusisinkana nabo nate.

Naye okusobola okufuna obulamu obwo, tulina okutandika kati.  Tulina okubeera abantu ab’okuzuukira, nga Paulo Omutukuvu bw’agamba mu somo ery’okubiri nti: “Ab’oluganda oba mwazuukirira ne Kristo, mufe ku bya waggulu eyo Kristo gy’ali …”

Kitegeeza ki?  Kitegeeza: Okulekera awo ebibi. Okusonyiwa abalala, Okuba abeesigwa. Okuyamba bannaffe. Okwesiga Katonda

·        Bw’ogaana okusonyiwa, okyali mu ntaana. Bw’osonyiwa, obeera mu Paska.

·        Bw’obba, ekyo kizikiza. Bw’oba mwesigwa, ekyo kuzuukira.

·        Bw’oggwaamu essuubi n’ogamba nti “byonna biwedde,” ekyo kizikiza.
Naye bw’ogamba nti “Katonda ajja kukola,” ekyo kwe kukkiriza kwa Paska.

Ab’oluganda, Paska si lunaku lumu lwokka. Bwe bulamu. Era buli Ssande, tudda okuzza obuggya obulamu obwo. Buli Ssande etujjukiza nti: Yezu ali mulamu.  “Kristo azuukidde! . . . Azuukiridde ddala!”

Conclusion

Nga tudda awaka—okulya embaga ya Paska, n’okulambula abenganda n’emikwano—tujjukire bino:

  • Enntaana ya Yezu njereere
  • Yezu ali mulamu
  • Okufa kuwanguddwa
  • Essuubi likomyewo

Ne bw’oba mu kizikiza kyonna, tofiirwa ssuubi. Yezu yamala dda okuwangula. Kale mugende awaka nga muli basanyufu.

Era tuddeemu nate n’okukkiriza okunene: “Kristo azuukidde! . . . Azuukiridde ddala!”

No comments:

Post a Comment